Webmail |Login| Invest| Register|Blog

EBYABAAWO NG’OMUNGEREZA AMAZE OKUWAMBA UGANDA N’OBUGANDA BWONNA


Endwadde eya Mmongoota (Sleeping – sickness) ereetebwa ebivu, yava e Ssese n’erumba olukalu, Bajjajjaffe gye baali beekwese. Omungereza okuwonya obulamu bwabwe, n’alagira abantu bonna okwamuka ebitundu ebyo byonna ebyali birumbiddwa Mongoota nga ne Bbale ekya Namugera okuzingiddemu. Omungereza yalagira abantu beeyongere munda mailo ssatu (3) okuva ku nnyanja. Jjajjaffe Namugera n’abaanabe ne beewogoma mu bagandabe abaali ewalako n’ennyanja, e Mitemula.

Baabeera eyo okutuusa Omungereza endwadde ya Mongoota lwe yagimala amaanyi. N’abalagira okuddayo mu bibanja byabwe bye yali abagobyemu.

Abatono baatandika okuddayo okukandula ebyali ebibanja byabwe. Mw’abo abaddayo amangu mwe mwali taata wange, ADULFU BASAJJABALABA MAYIGA, Katikkiro wa Namugera, ow’ensibo akuuma obutaka bw’e Bbaale.

Namugera eyali atadde Entebeye e Mitemula, awo w’ali kaakano yajja n’akandula ekibanjakye n’embugaye. Ono nga ye Namugera Mawaggali.

Obulamu bwe bwagonda, najjibwa e Mitemula, n’aleetebwa e Bbaale. Era e Bbaale gye yafiira, n’aziikibwa awo mu mbugaye ne mukyalawe era awo weyaziikibwa, n’abaaba be bonna baziikibwa awo. Mutabani we Gatunula-(omusikawe) bwe yafa omulambo gwe gwaleetebwa e Bbaale ne guziikibwa kumpi ne Kitaawe (Namugera). Omwana omu omulenzi eyali ayitibwa Sebastine ye yaziikibwa e Mitemula, mu kibanja kitaawe Namugera kye yali amuwadde, gye baayitanga mu Nzo”.

Ekituufu Namugera Mawaggali yalina amaka abiri (2), naye ng’amaka amakulu omuli embugaye, ge g’e Bbaale.

Bino ebitonotono bye mpandiise, bikuyambe okumanya ensibuko ya Bajjajja gye baava ne gye bali okutuusa kati.

Okwongereza kw’ebyo, Bajjajjaffe mu kudda e Bbaale, baali balowooza nti bazzeeyo e Bbaale ku “BUTAKA BWABWE era mu TTAKA LYABWE”! Kazzi nga Gavumenti ebatwala ng’abasenze ab’ebibanja ku ttaka lyayo, lye yamala okweddiza.

Byaba bwe bityo, kuba Ow’ekitiibwa S. A. MUGWANYA ne banne abaali bakuuma Obwakabaka bwa Buganda baagaana okuwa Bajjajjaffe ekyapa ng’omukulu w’Amatwale bwe yali abalagidde.

S. A Mugwanya ne banne baleeta ensonga nti Kabaka (Chwa II) akyali muto, bw’alituuka okuramulira OBUGANDA, n’asanga ng’ettaka lye tuligabidde ABATAKA, ajja kutunyiigira.

Oluvannyuma Bajjajjaffe ne Bakitaffe bwe baamanya nti ettaka ly’e Bbaale lyonna gavumenti yalitwalira ddala, ne bawawaabira Gavumenti mu mbuga ez’amateeka.

Omusango sigwagenda wala. Omulamuzi yabasaba baleete ekyapa kwe baafunira ettaka eryo. Baali sibalinaawo kyapa yadde ebiwandiiko ebibawa obwannannyini ku ttaka eryo. Omulamuzi omusango gwabwe n’agugoba.

Olukiiko lw’ekika lwatuula bukubirire, ne lusalawo Ekika kigule Mailo awantu wonna.

Eyatumibwa okugula Mailo ye Jjajjaffe ZAVERIO (Zabye). Musajjaawaza e Kisunku. Zabye ku bwangu n’agizuula e KASANKALA, e Kooki, Rakai.

Yakomyawo amawulire ag’essanyu n’asaba olukiiko olwamutuma, lumuwe ssente asasule nannyini yiika ezo olukaaga n’okusoba.

Bajjajjaffe ne bakitaffe ssente zaababula!

Zabye kye yakola kwe kuva mu ssenteze n’asasula nannyini ttaka ne biggwa.

Okuva olwo etteka ne libeera lirye n’abaanabe abalimusikira. Abavubuka mpozzi n’abantu abakulu, abatamanyi be bawoza nti Zabye yabba ettaka ly’Ekika. Ekika kye kyalemwa okusasula.

Ku yiika ezo yatoolako yiika kkumi (ac. 10) n’aziwa Eklezia ng’akyali mulamu, ng’ayagala mu ttaka lye bazimbemu Eklezia ya Katonda.

Akola ku ttaka ly’Eklezia y’akyalemeddwa okugenda okupima yiika ezo, n’okufuna ekyapa- Anti Administrator w’ebintu bya Zabye w’ali, ye Dominico Ssebbowa (Kati Vincent Mayiga), e Kisunku-Kalisizo.

N.B. Kyava ku ki “Namugera Kasekende okwongerwako erya “Kakeeto”? Abaana abato batuumaŋŋana amannya nga balabira ku munnaabwe nga bwe yeeyisa.

“Namugera” yali ayagala nnyo katabanike akaamusikira. Buli gye yagendanga (Namugera) nga katabanike ako ke kambalira akaliba oba enkeeto Namugera kwe yatuulanga.

Erinnya erya Kakeeto lyakala ku mwana munnaabwe, ne bwe yalya obwa Namugera nga bongerako erya “Kakeeto”.

“NAMUGERA K. Kakeeto”. Erya Kakeeto ssi linnya lya “Bangeye”.


Enteekateeka z'okuzimba ekizimbe okugenda okubeera ekakkalabozo ly'ekika zigenda mu maaso. Ekkakalabizo lino lisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw'ensi za Uganda bubiri (Ush 2b)


Muntekateeka y'okukulakulanya ekika n'abazukkulu, Ekika kyasalawo okulima emiti gya Kabakanjagala ku butaka bwaffe e Bbaale

Gallery

Our Photos and Videos

Latest News

Nabugabo retreat

Downloads

Downloadable files