Webmail |Login| Invest| Register|Blog

Ensala Y’omusango Gw’ekika Ky’omutima Daudi Bakiika Nakirembeka Gw’awawaabira Namugera Kaaketo Gatunulajjo.

Tumaze okukebera n’okwekkaanya, ne tusala omusango ne gusinga omuwaabi Daudi Bakiika Nakirembeka – kyeguva gumusinga:-

    1. Kubanga mu mwaka 1926 yawoza Bulangira. Era mu mwaka ogwo n’atabagana n’olukiiko kw’Ekika ky’Omutima n’amenya obulangira bwe yali awoza.
    2. Olukiiko lw’Ekika lwamulagira okuleeta Abaamasiga ne Namugera Kakeeto okuleeta agage. Abadde tannagaleeta (amasiga) ate n’ajja awaaba mu Lukiiko lwa Kabaka nti nze Mukulu w’Ekika ky’Omutima ng’awawaabira Namugera Kakeeto Gatunulajjo.
    3. Olukiiko lwa Kabaka ne lulagira okuzza omusango guno mu Lukiiko lw’Ekika.
    4. Obwajjajja bw’Ekika bwe yawawaabirira nti nze Jjajja w’Ekika. Olukiiko bwe lumubuuzizza obujulizi nga bwali Jjajja w’Ekika ky’Omutima bumubuze.
    5. Bw’olaba mu masiga ge gonna naye erya Namugera gw’ayita omwana we talyogerako; ensikirano yalyo ng’amalala bw’agogerako ensikirano yaago, so nga Namugera mu mpoza ye amwogerako nga bw’ali omwana we.
    6. Ate Namugera gw’abadde ayogerako mu mpoza ye nti mwana wange ate agamba nti ssi mwana wange ye wa Nyonyi wa Mbazira.
    7. Bw’olaba era mu kibuuuzo No. 23 agamba nti munnange alina Akasolya akake nange nina Akasolya akange, sikyalina Namugera Kakeeto Gatunulajjo kye mmuvunaana,
    8. Kale nno mu nsonga ezo mwetusinzidde okusala omusango okusinga Daudi Bakiika Nakirembeka, ne tumulagira okutabagana awamu ne Namugera Kakeeto Omukulu w’Ekika ky’Omutima; kubanga omuziro guli gumu.

Ne tumubuuza nti ojulira Olukiiko Olukulu olwa Ssabasajja Kabaka?

Okuddamu kwe nti njulira.

Ataddeko omukono gwe,

Daudi Bakiika, Nakirembeka.

Ffe abasaze omusango guno:-

    1. Petro Kasikisa Mutuba I, Buyaga, Omubaka w’Olukiiko Lwa Kabaka.
    2. Yoanna Aligaweesa Musaale we Kabula
    3. Zeverio Musajjawaza
    4. Yokana M. Katera
    5. Bulazi Ntangamalala
    6. Adulufu Balaba
    7. Batimayo Malekane

Omusango gwamusinga, n’akakasibwa mu ssiga ery’e Butale-Buwunga.

Okusinziira ku musango ogwo, ogwaali guleese akatabuko mu kika ky’Omutima, Ssekabaka Daudi Chwa, n’awa ab’Ekika ky’Omutima amagezi bave ku by’okulondanga Namugera mu mituba nga bwe babadde bakola, naye obwa Namugera bubeere bwa nsikirano, kwekugamba; Omwana omulenzi amusikidde nga y’abeera Namugera Kasekende

Okusinziira ku biriwo kati mu kika ky’Omutima, kwekugamba; Omukulu w’Ekika okulwaala ate mutabaniwe nga tayagala kusikira kitaawe mu bukulu obwa Namugera, olw’okuba nti waliwo abantu ababukaayanira. Obudde butuuse Ekika kidde ku nkola ya Bajjajjaffe mu mituba omukaaga (6). Buli mutuba nga gussaawo omuntu omu omusengejje. Mu babaka abo omukaaga (6) eyasinzanga banne obululu nga y’atwala obwa Namugera Kasekende.

Emituba etaano (5) egiwanguddwa, nga sigiyomba, nga gisigala mu ddembe, nga girinda bulinzi ku lulonda oluliddako (Bajjajjaffe baalina Democracy ow’ekika owa waggulu). Ekika ky’Omutima bwe kinadda ku nkola eyasooka, Bajjajjaffe gye bassaawo olw’obulungi bw’Ekika n’eddembe, banaaba bakoze kikulu nnyo okumalawo omuvuyo n’enkayana zonna ezandizzeewo, ezaawulayawula mu baana ab’enda emu.

 
 

Enteekateeka z'okuzimba ekizimbe okugenda okubeera ekakkalabozo ly'ekika zigenda mu maaso. Ekkakalabizo lino lisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw'ensi za Uganda bubiri (Ush 2b)

 

Muntekateeka y'okukulakulanya ekika n'abazukkulu, Ekika kyasalawo okulima emiti gya Kabakanjagala ku butaka bwaffe e Bbaale

 
Gallery

Our Photos and Videos

Latest News

Nabugabo retreat

Downloads

Downloadable files