Webmail |Login| Invest| Register|Blog

Obutaka bwaffe

Ekituufu kirinti Namugera Kakeeto eya sooka yali Kabaka. Nnamulondo ye yali Buddo. Katikkiro we yali ayitibwa Bemba. Katikkiro ono yali mukambwe nnyo. Yatta abantu okutuuka lwe beetamwa, ne beekubira enduulu. Baayita omu ku balangira, eyalina amaanyi, Omulangira yajja ennyago ne zikekera.

Kabaka Namugera baamutemyako nti Omulangira azze bukula, eggye lyo alimalawo.Namugera yakwatamu byanguwa ng’akkirira e Munyonyo. Ng’akwata erimu ku maato g’empingu ya Kabaka ne bagandabe abaasobola okugya mu lyaato (empingu ya Kabaka). Abataagendera mu Mpingu, baakwata lya lukalu. Abaakwata ery’olukalu beeyawulamu ebibinja bibiri:

Abatonotono baakwata ly’e Bulemeezi ne bagoba ku lusozi oluyitibwa Lusiba mu Ggomba, abasinga baddukira Buddu. Bano lwakwebuzaabuza ne beeyita Abasaggi abaava e Bunyoro. Ne batandika n’okwetuuma erinnya “LUSIBA” ne “NALUSIBA”. Eyo gye baava mpolampola ne basaasaana mu Buddu.

Namugera Kabaka omunaanule bwe yawulira nti bagandabe abaayita Olukalu batuuse e Butale-Buwunga, n’alagira basigale awo kumpi ne Baganda baabwe abaali e Nakiyaga, Kasozi, Kafuluma ne Kyabbogo (Nalozaali). Awo Abasaggi abaali boolekedde ery’e Bbaale beegatte ku mukulu waabe Namugera. Yabategeeza (Namugera) ng’e Bbaale bwe wali awafunda. Abasaggi baasigala e Butale ne libeera ESSIGA LYABWE nga lya muliraano n’amasiga amalala.

Amasiga gano okubeera amangi ate nga gamuliraano, kabonero akategeeza nti omulabe agezaako okulumba essiga erimu, aba akiguddeko.

Nga bali mu nnyanja, baasalawo okuddukira mu bizinga by’e Ssese. Bwe baagoba e Ssese, ne balaba nga bali mu kabi kanene, singa omulabe waabwe anaabazingiriza ku bizinga, ajja ku batta abamalewo, ne bakyuusa badde ku lukalu. Kwe kuvuga ne bagoba e Bbaale, awali empuku ennene nga basobola okulengera wonna mu bwengula bw’ennyanja- Ate waggulu w’empuku nga weetadde bulungi. Ku njuyi zombi omulabe gy’ayinza okufuluma nga balabayo bulungi. Kabaka Namugera omunaanule yabeera mu kifo ekyo okumala ekiseera kinene nga talaba amulumba- Omulangira bwe yamala okuwamba Namulondo ya Namugera eby’okuwondera Namugera n’abivaako.

Ebyabaawo ng'ensi eteredde

Mu mulembe gwa Ssekabaka Daudi Chwa II, omusajja omusaggi ng’ava mu BASAGGI abaddukira e Bulemeezi, Ssekabaka Daudi Chwa II n’amugonnomolako obwaami obw’okukuuma “ENKULUZE” y’Obwakabaka bw’e Buganda. Omusajja oyo nga ye Waliggo.

Waligo ng’ali Mmengo ku bukulu bw’Eggwanika ly’Obuganda, yateeseganya ne mugandawe Omusaggi, Daudi Bakiika-Nakirembeka, bawambe obwa Namugera (obusika) e Bbaale-kuba abasika ba Namugera, bantu baavu era ssi bayigirize kimala.

Daudi Bakiika Nakirembeka ng’afunye obuwagizi bwa Waligo, yabissaamu engatto, ne yessa mu lukiiko lwa Namugera e Bbaale. Yawaaba omusango.

Yeeyanjula nga bw’ali Omulangira era nga mukulu w’oyo gwe babadde bayita Namugera (nga Ye Gatunulajjo) - “Obukulu obwo obwa Namugera e Bbaale, bwange (-Daudi Bakiika Nakirembeka).

Weesomere omusango gwa Daudi Bakiika Nakirembeeka-Empozesa yaagwo n’ensala mu lukiiko lw’e Mmengo olwa Ssekabaka Daudi Chwa II.

 
 

Enteekateeka z'okuzimba ekizimbe okugenda okubeera ekakkalabozo ly'ekika zigenda mu maaso. Ekkakalabizo lino lisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw'ensi za Uganda bubiri (Ush 2b)

 

Muntekateeka y'okukulakulanya ekika n'abazukkulu, Ekika kyasalawo okulima emiti gya Kabakanjagala ku butaka bwaffe e Bbaale

 
Gallery

Our Photos and Videos

Latest News

Nabugabo retreat

Downloads

Downloadable files