Webmail |Login| Invest| Register|Blog

Okukola kwa Namugera Kakeeto

Nga Nnamugera ali ku Bbale omulimu gwe gwali gwa buvubi era nga avuba, yakwasa omwana we omukulu Sseremba eryato lyabwe Nkerai, mu kiseera ekyo yaleega n’eŋŋ’oma nagituuma erinnya. Namusiga asiize gw’atazaala.

Lwali lumu nga Sseremba egenze okuvuba n’agwa mu nnyanja n’afiirayo. Namugera kye yava aleega eŋŋoma endala n’evuga nti “Ekifa mu nnyanja omuvubi yabika”, kubanga baali bavubi abalala abali ku nnyanja be baamubikira mutani we Sseremba nti agudde mu Nnnyanja, era afudde. Mu kiseera ekyo Namugera yali nga akaddiye nnyo: era waayita ebbanga ttono Namugera n’afa.

Namugera ng’afudde omwana we 3 Bbale (Kakeeto) n’asika. Oyo kwe kwatandikira okuyita erinnya Namugera okubeerako erya Kakeeto n’okutuusa kaakati Omukulu w’Ekika ky’Omutima ayitibwa “NAMUGERA KAKEETO!”. Kakeeto lyava ku nkeeto ye gyeyatambulanga nyo era nga kigambibwa nti mutabaniwe Sseremba yeeyagyimukwatiranga. Olwo nno Namugera n’agattibwako elya Kakeeto.

Namugera Kakeeto bwe yafa, Omwana wa Namugera ow’okubiri Mayiga n’asika.

Mayiga “Namugera Kakeeto” bweyafa “Bwanika” Omwana wa Sseremba n’asika, okuva kwekyo abazzukulu ne batandika okulya obwa Namugera Kakeeto.

Bwanika omwana wa Sseremba oyo bwe yali ng’akyakola ne kitaawe ng’avuba, yayanikanga emigonjo n’ebyennyanja okubiggya mu Migonjo. “Emigonjo” bye bintu ebyavubirwanga mu byennyanja.

Bwanika nga ali ku bwa Kakeeto, abantu baatandika okugereesa nga bagamba nti “Bwanika obwa Sseremba eyayanika enchwi n’emigonjo”, n’okutuusa kati muwulira nti Bwanika eyayanika enchwi n’emigonjo.

 
 

Enteekateeka z'okuzimba ekizimbe okugenda okubeera ekakkalabozo ly'ekika zigenda mu maaso. Ekkakalabizo lino lisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw'ensi za Uganda bubiri (Ush 2b)

 

Muntekateeka y'okukulakulanya ekika n'abazukkulu, Ekika kyasalawo okulima emiti gya Kabakanjagala ku butaka bwaffe e Bbaale

 
Gallery

Our Photos and Videos

Latest News

Nabugabo retreat

Downloads

Downloadable files