Webmail |Login| Invest| Register|Blog

Omuziro n'akabbiro

Omuziro

Mutima

Akabbiro

Mawowoolo

Obutaka

Bbaale

Ow'akasolya

Namugera Kakeeto

Omubala Ekifa ennyanja; omuvubi y'abika, olukka enyanja nga n'enga, otta ento Kabaka n'atalya maluma. Gutujja, omutima gutujja, bwegukutujjira ow'omukwano ozuukuka mu kawozamasiga.

Omuziro

Omuziro gw'abayanja Mutima. Abamu balowooza nti mutima gwa ttaka naye si kituufu. Kino kirabikira ne ku kabonero kaffe ak'omutima. Omutima guno guba gwa nsolo so si gwa muntu oba gwakirime ng'abasingala bwe balowooza.

Akabbiro

Okumala ebbanga ddene, abasinga baali bamanyi nti akabbiro k'abayanja Nnyonyi nyange. Naye oluvanyuma kyakkaanyizibwako nti akabbiro k'abayanja Mawowoolo.

Waliwo enjawulo wakati w'amawuggwe n'amawowoolo; amawuggwe gabeera gaamuntu ate go amawowoolo gaba gansolo.

Obutaka

Obutaka bw'abayanja buli Bulegeya Bbaale mu Buddu. Nga eno Jjajjaffe Namugera Kakeeto eya sooka asibukamu ekika ky'Omutima gyeyabeeranga era yeewali n'ennyumbaye mweyabeeranga (Empuku).

Ow'akasolya

Namugera Kakeeto si linya wabula kitiibwa ekiweebwa omukulu w'ekika ky'Omutima. Omuyanja takkirizibwa kutuuma mwana mannya gano gombi wabula asobola otuumako erimu; Kakeeto oba Namugera. Kino kiri kityo kubanga Namugera Kakeeto abeera omu yekka mu kika.

Omubala

"Ekifa ennyanja; omuvubi y'abika, olukka enyanja nga n'enga, otta ento Kabaka n'atalya maluma. Gutujja, omutima gutujja, bwegukutujjira ow'omukwano ozuukuka mu kawozamasiga." Omubala guno agukuba ayitibwa Kawuula era nga gukubibwa ku mikolo gy'ekika egy'ejawulo gamba okwabya olumbe, n'emirala.

 
 

Enteekateeka z'okuzimba ekizimbe okugenda okubeera ekakkalabozo ly'ekika zigenda mu maaso. Ekkakalabizo lino lisuubirwa okuwemmenta obuwumbi bw'ensi za Uganda bubiri (Ush 2b)

 

Muntekateeka y'okukulakulanya ekika n'abazukkulu, Ekika kyasalawo okulima emiti gya Kabakanjagala ku butaka bwaffe e Bbaale

 
Gallery

Our Photos and Videos

Latest News

Nabugabo retreat

Downloads

Downloadable files